Numbers 4:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano abasobola okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano n'okwetikka emigugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abayinza okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza, n'ogw'okusitula emigugu mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira okukolanga omulimu ogw'okuweereza, n'omulimu ogw'okusitula emigugu mu weema ey'okusisinkanirangamu,