Numbers 4:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga Omukama bwe yayogera ng'ayita mu Musa, buli omu yaweebwa omulimu gwe n'abuulirwa n'eby'okusitulanga. Bwe batyo bwe baabalibwa Musa ne Aroni ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli musajja yaweebwa omulimu ogw’okukola n’ategeezebwa ky’aneetikka, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Bwe batyo bonna ne babalibwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'abala abantu abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu ng'emirimu gyabwe bwe gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa, buli musajja yabalibwa, n'aweebwa omulimu ogw'okukola, oba omugugu ogw'okusitula. Bwe batyo bwe baabalibwa nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, baabalibwa n'omukono gwa Musa buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, era ng'okusitula kwe bwe kwali: bw'atyo bwe yababala, nga Mukama bwe yalagira Musa.