Numbers 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'emmeeza ey'Emigaati egy'Okwolesebwa bagibikkanga olugoye olwa kakobe, ne bateekako essowaani, ebijiiko, ebibya, n'ensumbi ezeyambisibwa mu bitone eby'okuyiwa; naye Emigaati gy'Okwolesebwa gyo gisigalangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku mmeeza ey’Emigaati egy’Okulaga banaayaliirangako ekitambala ekya bbululu, ne bassaako amasowaane, n’ebijiiko ebinene, n’amabakuli, n’ejaagi omunaabeeranga ebiweebwayo ebyokunywa; n’emigaati egy’okulaga nagyo ginaabeeranga okwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne ku mmeeza okuteekwa emigaati egiweebwayo eri Mukama, banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe ebikozesebwa mu biweebwayo eby'okunywa; n'emigaati egiweebwa Mukama ginaabanga okwo ekiseera kyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne ku mmeeza ey'emigaati egiweebwayo eri Katonda, banaayaliirirangako olugoye olwa bbululu, ne bateekako essowaani n'ebijiiko, n'ebbakuli, n'ebikopo eby'ekiweebwayo ekinywebwa. Era olubeerera, ku mmeeza kunaabeerangako emigaati egiweebwayo eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku mmeeza ey'emigaati egy'okulaga banaayaliirangako olugoye olwa kaniki ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe eby'okufukanga nabyo: n'emigaati egitavangawo ginaabanga okwo: