Numbers 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kungulu banjululizangako olugoye olutwakaavu, ate nalwo ne balubikkako n'ekibikkako eky'eddiba ekkunye, olwo ne bayisaamu emisituliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaayaliirangako ekitambaala ekimyufu ennyo, ne bakibikkako amaliba ga lukwata; ne basonsekamu emisituliro gyayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era banaabibikkangako olugoye olumyufu, era ku lwo ne balyoka babikkako amaliba amagonvu, ne bagiyingizaamu emisituliro gyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo banaabyaliirirangako olugoye olumyufu, ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, olwo emmeeza ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era banaayaliiranga ku byo olugoye olumyufu, ne balusabikako olwo n'amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyayo.