Numbers 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baddiranga olugoye olwa kakobe ne balubikka ekikondo ky'ettawaaza, ettawaaza, magalo zaakwo, ebiteekebwamu evvu, n'ejjaagi omubeera omuzigo ogw'okussa mu ttawaaza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Banaddiranga ekitambaala ekya bbululu ne bakibikka ku kikondo ky’ettaala kwe zinaayakiranga, n’ettabaaza zaako, n’ebikomola entambi n’ensuniya ez’ebisirinza, n’ejaagi ez’amafuta ag’omuzeeyituuni aganaakozesebwanga mu ttaala ezo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ekikondo ky'ettabaaza, n'ettabaaza zaakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta binaabikkibwangako n'olugoye olwa bbulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne baddira olugoye olwa bbululu, ne basabika ekikondo ky'ettaala, n'ettaala zaakyo, ne makansi zaakyo, n'ensaniya zaakyo ez'evvu, ne byonna ebiteekebwamu amafuta agakozesebwa mu kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddira olugoye olwa kaniki, ne basabika ku kikondo ky'ettabaaza, n'eby'ettabaaza byakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta, bye bakiweerezesa: