Numbers 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuntu ky'awonga kiba kikye, naye bw'akiwa kabona kiba kya kabona.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kintu kyonna ekitukuvu, omuntu ky'anaaleetanga eri kabona, kinaabanga kya kabona oyo gwe bakikwasizza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli ekiwongeddwa, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebintu ebya buli muntu ebitukuzibwa, binaabanga bibye: ekintu kyonna omuntu yenna ky'anaawanga kabona, kinaabanga kikye.