Numbers 5:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Singa omukazi omufumbo awabanga n'amenya obwesigwa eri bba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omusajja yenna bw'anaateeberezanga mukazi we obutaba mwesigwa gyali,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ayogere n'Abayisirayeli abagambe nti: “Muk'omusajja bw'anaddanga ebbali n'ataba mwesigwa eri bba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omukazi w'omuntu yenna bw'anaakyamanga, n'amusobyako,