Numbers 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omusajja omulala ne yeebaka naye, kyokka bba n'atakimanyaako, naye nga yeegwagwawaza mu nkiso, kubanga tewali bajulirwa, oba kubanga takwatiddwa lubona,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga yeegasse n'omusajja omulala mu nkiso ne yeyonoona, so nga ne bba takimanyi era nga tewali muntu amusisinkanirizza okumulumiriza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omusajja omulala ne yeebaka naye mu kyama, bw'atyo omukazi oyo ne yeeyonoona nga bba tamanyi, era nga tewali mujulirwa amulumiriza, kubanga teyakwatirwa mu kikolwa ekyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omusajja n'asula naye, ne kikwekebwa amaaso ga bbaawe, ne kikisibwa, ye n'ayonooneka, ne wataba mujulirwa amulumiriza, era nga tebamusisinkanirizza;