Numbers 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bba olw'obuggya n'ajjirwa okubuusabuusa mu mukazi we, ate ddala nga yeegwagwawaza, ne bw'aba ateerera muteerere sso ng'omukazi tanneegwagwawaza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga kituufu ng'omukazi ayonoonye, oba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga sikituufu ng'omukazi tayonoonye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bba n'ajjirwa okuteerera nti mukazi we yeeyonoonye, oba n'amuteerera, kyokka nga teyeeyonoonye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omwoyo ogw'obuggya ne gumujjira, n'akwatirwa mukazi we obuggya, naye ng'ayonoonese: oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunaamujjiranga, n'akwatirwa mukazi we obuggya, so naye nga tayonoonese: