Numbers 5:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amuleetanga eri kabona. Aleetanga n'obuwunga obwa sayiri obuweza ekyekkumi kimu ekya efa ng'ekitone ku lwa mukazi we. Tayiwangako muzigo oba okussaako obubaani kubanga kino kitambiro olw'obuggya, kijjukizo ku lw'ensobi eyakolebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona, n'amuweerayo ekiweebwayo eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri. Takifukangako mafuta gonna, so takiteekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekijjukiza obutali butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona. Era anaamuweerangayo ekitone kya kilo emu ey'obuwunga obwa bbaale. Taabufukengako muzigo gwa mizayiti, wadde okubuteekako obubaane, kubanga ekitone ekyo kye kiweebwayo omusajja ateerera mukazi we ne kiteekebwawo, amazima galyoke geeyoleke.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale omusajja anaaleetanga mukazi we eri kabona, n'amuleetera ekitone kye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri; tafukangako mafuta gonna, so tateekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, ekijjukiza obutali butuukirivu.