Numbers 5:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
addiranga amazzi amatukuvu mu nsumbi, n'assaamu ku nfuufu evudde wansi mu Kisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaddiranga amazzi amatukuvu nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona n'addira amazzi amatukuvu agali mu kibya n'agatabulamu enfuufu gy'ayodde wansi mu weema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaddiranga amazzi agaweereddwa omukisa, n'agateeka mu kibya. N'atoola ku nfuufu eri wansi mu Weema Entukuvu, n'agiteeka mu mazzi ago, okugafuula agakaawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kabona n'addira amazzi amatukuvu mu kintu eky'ebbumba; ne ku nfuufu eri wansi mu weema kabona anaatolangako, n'agiteeka mu mazzi: