Numbers 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona ng'amaze okuteeka omukazi mu maaso g'Omukama, anaamusumululanga enviiri, n'assa mu mikono gye ekitone eky'obuwunga eky'ekijjukizo era ng'ekitambiro olw'obuggya; ye kabona asigalanga akutte amazzi agakaawa ag'ekikolimo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama, n'amusumulula enviiri n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza obuggya; era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ataggulula enviiri z'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obuwunga, ekiweereddwayo olw'okumalawo okuteerera. Ye kabona n'akwata mu mukono gwe amazzi agakaawa, agaleeta ekikolimo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama n'abikkula ku nviiri ez'oku mutwe gw'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, kye kiweebwayo eky'obutta eky'obuggya: era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazti agakaawa agaleeta ekikolimo: