Numbers 5:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo kabona amulayizanga ng'agamba nti: “Oba tewabanga musajja mulala yeebaka naawe, oba ggwe okuva ku balo, oba tobangako atali mulongoofu mu bbanga lino ng'ofumbiddwa balo, amazzi gano agakaawa ag'ekikolimo gakwejjeereze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaamulayizanga n'agamba omukazi nti, oba nga tewali musajja eyeegatta naawe, era nga tokyamanga eri obutali bulongoofu ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa, agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona anaalayizanga omukazi ng'amugamba nti: Oba nga tewabangawo musajja mulala yeebaka naawe, era oba nga toddangako bbali mu bya bwenzi sso ng'olina balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegaakukoleko kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaamulayizanga, n'agamba omukazi nti Oba nga tewali musajja eyasula naawe, so tokyamanga eri obutali bulongoofu, ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegakubeerako: