Numbers 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lagira Abayisirayeli bagobe mu lusiisira buli mugenge yenna, n'alwadde obulwadde obw'okukulukuta amazzi, n'atali mulongoofu olw'okukwata ku mulambo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli afuuse atali mulongoofu olw'okukoma ku kifudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Lagira Abayisirayeli baggyenga mu lusiisira buli alina endwadde y'olususu etiisa, na buli alwadde ekikulukuto, na buli atali mulongoofu olw'okukoona ku kintu ekifudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli atali mulongoofu olw'omufu: