Numbers 5:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oba wava ku balo bw'otyo ne weegwagwawaza ng'omusajja omulala yeebaka naawe…”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala atali balo nga yeegatta naawe, ganaakukolako akabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oba nga wadda ebbali sso ng'oli mukazi mufumbo, n'oyenda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala oba nga yasula naawe atali balo: