Numbers 5:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wano kabona amugamba ebigambo eby'ekikolimo nti: “Omukama akuwe okukolimirwa n'okuvumirirwa mu bantu bo; ekisambi kyo kikenene n'olubuto lukwereege;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘ Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'ekikolimo, n'agamba omukazi nti, Mukama akufuule ekikolimo n'eky'okulabirako mu bantu bo, ng'akoozimbya ekisambi kyo, n'atumbiiza n'olubuto lwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo kabona anaalaamirizanga omukazi ebigambo eby'ekikolimo ng'agamba nti: Mukama akufuule anaajulirwanga mu bantu bo nga bakolima, bw'anaakonzibya ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'okukolima, kabona n'agamba omukazi nti Mukama akufuule ekikolimo n'ekirayiro mu bantu bo, Mukama bw'akoozimbyanga ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo;