Numbers 5:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amazzi gano ag'ekikolimo gakukkemu olubuto lukwereege n'ekisambi kikenene.” Omukazi ayanukulanga nti: “Amiina, amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’  “Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo. Omukazi n'addamu nti Amiina, Amiina.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi gano agaleeta ekikolimo, gayingire mu byenda byo, gatumbiize olubuto lwo, era gakonzibye ekisambi kyo. “Omukazi anaddangamu nti: ‘Yee, nzikirizza kibe bwe kityo. Yee, nzikirizza kibe bwe kityo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo; omukazi n'ayogera nti Amina, Amina.