Numbers 5:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona aggyanga mu mukono gwe ekitone eky'obuwunga olw'obuggya n'akiwuuba mu maaso g'Omukama n'akiteeka ku mwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga Mukama Katonda, n’akireeta ku kyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akitwala ku kyoto;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona anaggyanga mu ngalo z'omukazi ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke eky'okumalawo okuteerera, n'akitwala ku alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akireeta eri ekyoto: