Numbers 5:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona aggyangako olubatu ku kitone eky'obuwunga n'abwokera ku mwaliiro ng'ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo, olwo amazzi agakaawa n'agawa omukazi aganywe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atoola ku kyo olubatu, nga ke kabonero k'ekiweebwayo ekyo, n'alwokera ku alutaari. Olwo n'alyoka anywesa omukazi amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago.