Numbers 5:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'aliba nga yeegwagwawaza, nga teyali mwesigwa eri bba, bw'alinywa amazzi ag'ekikolimo ne gamukkamu gamukaayirire, olubuto lumwereege n'ekisambi kikenene. Alivumirirwa mu bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, era bw'anaabanga ayonoonese, nga tabadde mwesigwa eri bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi oyo bw'anaabanga yayonoona n'ataba mwesigwa eri bba, amazzi agaleeta ekikolimo ganaamuleeteranga obulumi, olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikonziba, n'afuuka ekikolimo mu bantu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, kale olunaatuukanga, bw'anaabanga ayonoonese, era ng'asobezza ku bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingirangamu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be.