Numbers 5:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'aliba nga teyeegwagwawaza, nga taliiko kko, aliba yejjeeredde, alisobola n'okuzaala abaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, nga mulongoofu; kale taabengako kabi konna, era anaasobolanga okuzaala abaana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'anaabanga talina musango, taabengako kabi kamutuukako, era anaasobolanga okuzaala abaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, naye nga mulongoofu; kale taabengako kigambo, n'okuba aliba lubuto.