Numbers 5:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oba olw'obuggya omusajja n'abuusabuusa mu mukazi we. Kabona wa kumuleetanga mu maaso g'Omukama n'amukolako byonna ebiragiddwa mu tteeka lino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba obuggya bwe bunaakwatanga omusajja, anaaleetanga mukazi we mu maaso ga Mukama, ne kabona anaakolanga byonna ng'etteeka bwe liri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba ng'omusajja ajjiddwa ebirowoozo, n'ateerera mukazi we obwenzi. Omusajja oyo anaaleetanga mu maaso ga Mukama, omukazi gw'ateerera, kabona n'alyoka akozesa etteeka eryo lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunajjiranga omusajja, n'akwatirwa mukazi we obuggya; awo anaateekanga omukazi mu maaso ga Mukama, ne kabona anaamukoleranga etteeka eryo lyonna: