Numbers 5:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye omusajja taabenga na musango gwonna olw'ensobi eyakolebwa, naye omukazi aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja taabengako butali butuukirivu, naye omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja oyo taabengako kibi ky'avunaanibwa. Naye omukazi bw'anaabanga yayonoona, anaabonerezebwanga olw'ekibi kye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja n'atabaako butali butuukirivu, n'omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe.