Numbers 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'agwanga mu kimu ku bibi abantu bye batera okugwamu, n'ataba mwesigwa eri Omukama, omuntu oyo anaabanga azzizza omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna ku muntu munne, ng'asobezza Mukama, era anaabangako omusango;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'akola ekibi ku muntu munne, anyiiza Mukama era omusango guba gumusinze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna abantu kye bakola, okusobya Mukama, omuntu oyo n'abaako omusango;