Numbers 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayatulanga ensobi ye, n'azza kyonna ekimubanjibwa ng'agasseeko n'ekyokutaano kyakyo, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale anaayatulanga ekibi kye ky'akoze; era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'agattako n'ekitundu kyabyo ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anakkirizanga ekibi kye ky'akoze, n'aliwa mu bujjuvu ekintu ky'ayonoonye, n'ayongerako n'ekitundu kyakyo ekimu ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale banaayatulanga ekibi kye bakoze: era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'assaako n'ekitundu kyabyo eky'okutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.