Numbers 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wataabengawo wa luganda lwe wa kumpi gw'abiwa okutanga olw'ensobi ye, omutango gw'aliwa gunaafuukanga gwa Mukama, aguwanga kabona. Aleeterangako endiga ennume ey'omutango eriweerezebwa olw'okuddaabiriza ku lulwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa, ate nga talina wa luganda lwe olw'okumpi ayinza kuliyirwa, ekyo ekiriyibwa olw'omusango kinaabanga kya Mukama, ne kabona anaakitwalanga ne kiba kikye, ne kyongerwako endiga ennume eweebwayo nga ssaddaaka olw'okusonyiwa ebibi by'oyo eyazza omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa ate nga talina waaluganda lwa kumpi ayinza kuliyirwa, ekiriyibwa olw'omusango kinaaliyirwanga Mukama, ne kiba kya kabona, ne kyongerwako n'endiga ennume okusonyiyisa ebibi by'oyo eyazza omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu oyo bw'aba nga talina muganda we gwe bayinza okuliyira olw'omusango, ebyo bye baliwa olw'omusango bye baliyira Mukama binaabanga bya kabona; era n'endiga ennume ey'okutangirira, gye banaamutangirizanga.