Numbers 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ebintu byonna ebitone Abayisirayeli bye baleeta ewa kabona biba bya kabona;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli kiweebwayo ekitukuvu abaana ba Isiraeri kye baleeta eri kabona, kinaabanga kikye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kiweebwayo ekyenjawulo Abayisirayeli kye baleetera Mukama, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu byonna ebitukuw eby'abaana ba Isiraeri, bye baleetera kabona, kinaabanga kikye.