Numbers 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomunaana aleetanga ewa kabona amayiba abiri oba obuyiibwa bubiri awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omunaana, anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: