Numbers 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamu kabona anaakaweerezanga ng'ekitambiro olw'ekibi, ate kalala ng'ekitambiro ekyokye, addaabirize ku lulwe, kubanga yakola ekibi okuba awali omufu. Ku olwo alitukuza omutwe gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa olw’okumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kw’anaatukulizangako omutwe gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira; kubanga yeyonoona olw'abafu, anaddangamu n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona anaawangayo akamu ku bunyonyi obwo, kabe ekiweebwayo olw'ebibi, n'akookubiri kabe ekiweebwayo ekyokebwa, n'amusabira ekisonyiwo olw'ekisobyo kye yakola eky'okuliraana omufu. Omuntu oyo anaddangamu okuwonga omutwe gwe ku lunaku olwo lwennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira, kubanga yayonoona olw'abafu, n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo.