Numbers 6:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era alitukuza ennaku nga yeeyawulidde Omukama; aleetanga akaliga ak'omwaka ogumu akalume olw'ekitambiro eky'omusango. Naye ennaku ziri ezaakulembera ziriba zifudde, kubanga yayonoona okweyawula kwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aneewangayo eri Mukama Katonda okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, era anaaleetanga omwana gw’endiga omulume n’aguwaayo ng’ekiweebwayo olw’okusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga ery’obweyamo bwe obw’okweyawula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era anaddangamu okwewonga eri Mukama, ng'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannaweza mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango; naye ennaku ziri ezaasooka ez'okwewonga kwe teziibalibwenga, kubanga kwayonooneka.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era anaawongeranga Mukama ebbanga eggere ly'alimala nga amwewongedde, n'aleeta endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'omusango. Naye ebbanga eryasooka linaabanga lifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaawonganga eri Mukama ennaku ez'okwewonga kwe, n'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango: naye ennaku ezisoose zinaabanga zifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka.