Numbers 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'awaayo ebitone ew'Omukama: akaliga akalume ak'omwaka ogumu akataliiko kamogo olw'ekitambiro ekyokye, akaliga akaluusi ak'omwaka ogumu akataliiko kamogo olw'ekitambiro olw'ekibi, endiga ennume etaliiko kamogo olw'ekitambiro eky'okussa ekimu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'awaayo ekiweebwayo kye eri Mukama. Anaawangayo omwana gw'endiga omulume gumu ogutannaweza mwaka era ogutaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannaweza mwaka, ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'awaayo ekitone kye eri Mukama kya nsolo ssatu ezitaliiko kamogo: endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo ekyokebwa; n'endiga ento enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi; era n'endiga ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'awaayo ekitone kye eri Mukama, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ebiweebwayo olw'emirembe,