Numbers 6:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunazireewo alireeta ekisero ky'emigaati egitazimbulukuse, ate kabona n'aweereza eri Omukama endiga ennume ng'ekitambiro eky'okussa ekimu awamu n'ekitone kyakyo eky'obuwunga n'eky'okuyiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa; era kabona anaawangayo obutta bwakwo, n'eby'okunywa byakwo ebiweebwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atambira endiga ennume, ebe ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, n'akiwaayo awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa. Kabona era anaawangayo ebiweebwayo ebigenderako: eky'emmere ey'empeke, n'eky'ebyokunywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa: era kabona anaawangayo n'obutta obuweebwayo bwako, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo.