Numbers 6:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunazireewo awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano w'amweranga enviiri ze yawonga; aziddiranga n'azissa ku muliro oguli wansi w'ekitambiro eky'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ezo, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'addira enviiri ze, akabonero akalaga okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguliko ekitambiro eky'ekiweebwayo olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuwonge anaamweranga omutwe ogw'okwewonga kwe ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ez'oku mutwe ogw'okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.