Numbers 6:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omunazireewo amaze okumwako enviiri ze yali awonze, kabona addiranga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'aggya mu kisero kakeeki kamu akatazimbulukuse n'akagaati ak'oluwewere kamu akatazimbulukuse, n'abissa mu mukono gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukusiddwa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabona anaatwalanga omukono ogw'endiga ennume ogumaze okufumbibwa, era n'aggya mu kibbo akagaati kamu akatazimbulukusiddwa, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, byonna n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge amaze okwemwako enviiri eziraga okwewonga kwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukuswa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukuswa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe ogw'okwewonga kwe