Numbers 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'ayagalanga okweyama, kwe kugamba, okukuba obweyamo obw'okweyawulira Omukama ng'omunazireewo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, ‘Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obw'okwewonga, eri Mukama,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga ku lulwe okwewongera Mukama, amweweere ddala okumala ekiseera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obweyamo obw'omuwonge, okwewonga eri Mukama: