Numbers 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona abiwuubanga mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba; bino bitukuvu, bya kabona wamu n'ekifuba kye yawuubye n'ekisambi ekyayawuliddwako. Ebyo nga biwedde, omunazireewo ayinza okunywa evviini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa; oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaabiwuubanga bibe ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo, awamu n'ekifuba ekiwuubibwa era n'ekisambi ekisitulibwa, byayawulirwa kabona. Ebyo bwe biggwa, omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa: oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.