Numbers 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Lino lye tteeka ku munazireewo eyeeyamye okwewa Omukama mu kweyawula kwe, nga tobaze birala by'asobola kukola. Obweyamo bw'abanga akoze, abutuukirizanga ng'etteeka ku banazireewo bwe ligamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eryo lye tteeka ery’Omunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri Mukama Katonda ng’obweyamo bwe obw’okweyawula bwe bunaabanga, ng’agasseeko n’ebirala nga bw’anaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ng’etteeka ly’Omunnazaalayiti bwe liragira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekiweebwayo kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe; obutassaako ebirala byayinza okuwaayo. Ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eryo lye tteeka erinaafuganga omuntu eyeeyama okwewongera Mukama amweweere ddala okumala ekiseera, era lye linaafuganga ekitone ky'anaawangayo eri Mukama. Naye omuwonge bw'aneeyamanga okuwaayo eri Mukama ebisingawo, anaabiwangayo nga bw'anaabanga yeeyamye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekitone kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe, obutassaako ebyo by'ayinza okufuna: ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.