Numbers 6:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Aroni ne batabani be nti: ‘Abayisirayeli mubawanga bwe muti omukisa, mubagambanga nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yogera ne Alooni ne batabani be obagambe nti bwe muti bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri; nga mugamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Arooni ne batabani be nti bwe banaabanga basabira Abayisirayeli omukisa, banaagambanga bwe bati nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera ne Alooni ne batabani be nti Bwe mutyo bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri: munaabagambanga nti