Numbers 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yeggyanga ku vviini ne ku buli kyonna ekitamiiza; era tanywanga nkaatu ya vviini oba enkaatu y'ekitamiiza kyonna. Tanywanga mubisi gwa mizabbibu oba okugirya, gibeere mibisi oba egy'omuwotokwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
taanywenga mwenge oba ekitamiiza ekirala kyonna; era tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, wadde okulya ku zabbibu embisi oba enkalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
anaayawukananga n'okunywa omwenge n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza. Taanywenga ku kyakunywa na kimu ekikoleddwa mu mizabbibu, era taalyenga mizabbibu mibisi wadde egikaziddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
aneeyawulanga n'omwenge n'ekitamiiza; tanywanga ku mwenge omukaatuufu, n'ewakubadde ekitamiiza ekikaatuufu, so tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, so talyanga zabbibu mbisi newakubadde enkalu.