Numbers 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga lyonna ly'alimala nga munazireewo takombanga ku kyonna ekiyinza okuva mu mizabbibu, newandibadde obusigo oba obukuta bwagyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, zibeere nsigo newakubadde ebikuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku zonna z'alimala nga yeewongedde Mukama, taalyenga kintu na kimu ekiva ku muzabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, newakubadde ensigo newakubadde ebikuta.