Numbers 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga lyonna ly'alimala mu bweyamo nga munazireewo, akamwano tekayitanga mu mutwe gwe. Okutuusa ng'obudde buweddeyo bwe yeeyawuliramu Omukama, anaabeeranga mutukuvu; enviiri z'oku mutwe gwe azirekanga ne zikula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga, taamwebwengako nviiri ze; anaabanga mutukuvu, anaalekanga enviiri ze okukula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ennaku zonna z'alibeera mu bweyamo bw'okwewongera Mukama, taasalenga ku nviiri ze era taazimwengako. Anaasibwanga obweyamo bwe ebbanga lyonna ly'alimala nga yeewongedde Mukama, era anaalekanga enviiri ze n'ebirevu bye ne bikula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: okutuusa ennaku lwe zinaatuukiriranga, ze yeewongeramu eri Mukama, anaabanga mutukuvu, anaalekanga emivumbo gy'enviiri ez'oku mutwe gwe okukula.