Numbers 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bw'abeeranga nga kitaawe y'afudde, oba nnyina, oba muganda we, oba mwannyina, taganyanga n'ataba mulongoofu olw'okubeera bo, kubanga ku mutwe gwe akyalina akabonero nga bwe yeeyawulira Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero ak’obweyamo obw’okweyawula eri Mukama kanaabanga kali ku mutwe gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa mulambo gwa kitaawe, newakubadde ogwa nnyina, newakubadde ogwa muganda we, newakubadde ogwa mwannyina; kubanga yeewonga ku bubwe yekka eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kwefuula atali mulongoofu, ne bwe guba gwa kitaawe, oba gwa nnyina, oba gwa muganda we, oba gwa mwannyina, kubanga aba muwonge eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa kitaawe, newakubadde lwa nnyina, newakubadde lwa muganda we, newakubadde lwa mwannyina, bwe banaafanga: kubanga okwewonga kwe eri Katonda kuli ku mutwe gwe.