Numbers 6:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga lyonna nga yeeyawudde, alibanga muwonge wa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe anaabanga mutukuvu eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, aba ayawuliddwa n'aba wa Mukama mu ngeri ey'enjawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe aba mutukuvu eri Mukama.