Numbers 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa bwe yamaliriza Ekisulo n'akiyimirizaawo, yakisiiga omuzigo n'akitukuza n'ebyamu byonna. Yasiiga omuzigo n'atukuza omwaliiro n'ebigukozesebwako byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olwo, Musa bwe yamala okusimba Weema ya Mukama, n’agifukako amafuta ag’omuzeeyituuni n’agitukuza ne byonna ebikozesebwa mu yo, era n’afuka amafuta ag’omuzeeyituuni ku kyoto n’akitukuza n’ebintu byakyo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema Entukuvu, yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa mu yo. Era ne alutaari yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa ku yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba ennyumba, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza;