Numbers 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali agambye Musa nti: “Abakulembeze baleete buli omu ku lunaku lwawufu ekitone olw'okutukuza omwaliiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Buli lunaku omukulembeze omu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’okutukuza ekyoto.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Buli mukulembeze anaawangayo ekiweebwayo kye ku lunaku lwe olw'okutukuza ekyoto.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Olw'okuwonga alutaari, baleete ebitone byabwe buli mukulembeze ku lunaku lulwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Banaawangayo ekitone kyabwe, buli mukulu ku lunaku lwe, olw'okutukuza ekyoto.