Numbers 7:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Eliyabu mutabani wa Keloni kye yaleeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Eliyaabu mutabani wa Heloni kye yawaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.