Numbers 7:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Elizuri mutabani wa Sedewuri kye yaleeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Elizuuri mutabani wa Sedewuri kye yawaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabaani wa Sedewuli.