Numbers 7:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomusanvu Elisama mutabani wa Ammiwudi, omukulu w'abazzukulu ba Efurayimu, yaleeta ekitone kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze w’abantu ba Efulayimu, n’aleeta ekiweebwayo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu, Elisaama mutabani wa Ammihudi, era omukulu w'Ekika kya Efurayimu, n'awaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo;