Numbers 7:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bikkirize obibaggyeko, bikole ku mulimu gw'omu Weema ey'Ensisinkano; bikwase Abaleevi ng'ogerera ku mirimu gyabwe kye gibeetaagisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bye baleese bibaggyeeko, binaakozesebwanga ku mirimu gy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bikwase Abaleevi, nga buli mulimu gwa buli omu bwe gwetaagisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“bibaggyeeko bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Baggyeeko bye batonye, bikozesebwenga emirimu egy'okuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. Era onoobikwasa Abaleevi, okusinziira ku ebyo buli bamu bye beetaaga okukozesa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitoole gye bali, bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.