Numbers 7:72 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagyeli mutabani wa Okurani, omukulu w'abazzukulu ba Aseeri, yaleeta ekitone kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze w’abantu ba Aseri, n’aleeta ekiweebwayo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu, Pagiyeeli mutabani wa Okuraani, era omukulu w'Ekika kya Aseri, n'awaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo: